Job 18

Birudaadi Ayanukula

1Awo Birudaadi Omusukusi n’ayanukula n’agamba nti,

2“Mulikomya ddi okufuulafuula ebigambo?
Muddeemu amagezi, tulyoke twogere.
3 aLwaki tutwalibwa ng’ente
era ne tulowoozebwa okuba abasirusiru mu maaso gammwe?
4 bGgwe eyeyuzayuza olw’obusungu,
abantu ensi bagiveeko ku lulwo, oba enjazi zive mu bifo byazo?

5 c“Ddala etabaaza y’omukozi w’ebibi ezikidde,
era n’omuliro gw’ekyoto kye tegukyayaka.
6Ekitangaala kivudde mu weema ye;
n’ettaala eri ku mabbali ge nayo ezikidde.
7 dAmaanyi gamuwedde, ebigere bye tebikyali bya maanyi,
era enkwe ze, ze zimusuula.
8 eEky’amazima ebigere bye byamusuula mu kitimba
era n’atangatanga mu butimba.
9Omutego gumukwata ekisinziiro;
akamasu ne kamunyweeza.
10Omuguwa gumukwekerwa mu ttaka;
akatego kamulindirira mu kkubo lye.
11 fEntiisa emukanga enjuuyi zonna
era n’emugoba kigere ku kigere.
12 gEmitawaana gimwesunga;
ekikangabwa kirindiridde okugwa kwe.
13 hKirya ebitundu by’olususu lwe;
omubereberye wa walumbe amulyako emikono n’ebigere.
14 iAggyibwa mu bukuumi bwa weema ye
era n’atwalibwa eri kabaka w’ebikangabwa.
15 jOmuliro gumalirawo ddala byonna eby’omu weema ye;
ekibiriiti kyakira mu kifo mw’abeera.
16 kEmirandira gye gikala wansi,
n’amatabi ge gakala waggulu.
17 lEkijjukizo kye kibula ku nsi;
talina linnya mu nsi.
18 mAgobebwa okuva mu kitangaala, agenda mu kizikiza
n’aggyibwa mu nsi.
19 nTalina mwana wadde omuzzukulu mu bantu be,
newaakubadde ekifo mwabeera.
20 oAbantu ab’ebugwanjuba beewuunya ebyamutuukako;
n’ab’ebuvanjuba ne bakwatibwa ekikangabwa.
21 pDdala bw’etyo bw’ebeera ennyumba y’omukozi w’ebibi;
bwe gaba bwe gatyo amaka g’oyo atamanyi Katonda.”
Copyright information for LugEEEE